Bukedde Online – Munnayuganda ayawuliddwa ku budiikoni bw’Eklesia


Dikoni George Balinnya ( ku ddyo) nga yaakayawulibwa ku kitiibwa kino. Ku kkono ye, Viika wa Klesia y’Abasodokisi mu Uganda, Rev. Fr. Paul Mutaasa naye eyeetabye ku mukolo guno.

Omukolo ogw’okumwawula gwabaddewo nga August 25, 2019 mu Klesia y’omutukuvu Fotios mu kibuga Thessaloniki nga gwakolebwa Bp. Anthimos ow’ekibuga Thessaloniki ne Bp. Stephanos owa Kabala, Filipon ne Thasos nga bano bamwebaza olw’okwewaayo okumaliriza emisomo n’okwagala Katonda.

Yasabiddwa okwagala Katonda kubanga y’ensibuko, okwekwata abatukuvu ba Klesia okusingira ddala nnyina Katonda Maria era n’okukola n’amaanyi okunyinyitiza obuminsani mu Uganda ng’asaasaanya enjiri y’Obusodokisi.

Ono yasooka kusoma busomesa bw’okubala ne Physics ku yunivasite e Ndejje wano mu Uganda kw’agasse ddiguli eyookubiri mu by’eddiini ekintu kye yagambye nti, kigenda kumuyamba mu buweereza bwe.

Omukolo guno gwetabwako ne Viika w’Eklesia y’Abasodokisi mu Uganda, Rev. Fr. Paul Mutaasa ng’ono yategeeza nga kino bwe kyongedde amaanyi mu mirimu gya Klesia mu Uganda era n’amusaba okubeera ekyokulabirako.

Obudikoni ly’eddaala erisooka mu bwawule bw’Eklesia nga liddirirwa Obufaaza ng’erisembayo mu kwawulibwa lya Bisopu olwo ebitiibwa ebirala ebiddako bubeera buvunaanyizibwa obukolebwa oyo abeera abuweereddwa.






Source link

You may also like

Popular News

Featured News

Trending News