Bukedde Online – Bba wa mulamu wange anneesibyeko , nkole ntya !


Ssenga nsobedwa. Abantu bangi baleetawo embeera eno naye nga mu butuufu si kirungi. Omuntu yenna bw’akukola obubi olina okugezaako obutamukola bubi, kubanga kino bw’okikola naawe ofaanana ga ye.

Kati mwana wange ekirala oli mukyala mufumbo era omwami wo gw’olina okwagala yekka kati okwagala omusajja omulala olaba nga kireeta obuzibu mu maka?

Ekya mulamu wo okukwanira omwami wo abakyala ekyo kimanyidwa era balamu bakikola nnyo.

Naye tolina kwonoona bufumbo bwo kubanga omwami wa mulamu wo tasobola kukufuula mukyala era nsuubira nti naye ayagala kukwagalako bwagazi. Naye mwewuunya okukwana mukyala wa mukoddomi we.

Nze ndaba nga kisobola okuleeta obuzibu mu ffmire Kale mwana wange oba akukwana akukwane naye tomuwa ssuubi nti osobola okumwagala era nsuubira okulemerako amanyi nti naawe oli munafu mu mbeera gy’omulaga ng’asobola okukuwangula. Ate omusajja okukwana tekitegeeza nti aba akwagala.

Abasajja bangi bakwana naye abalina omukwano batono ddala. Era ennaku zino bangi bakwana naye nga bwagazi bwe bubatawaanya era bw’amala okwegatta naawe takuddira.

Abawala bangi ennaku zino bagamba nti bangi babakwana naye obufumbo bwagaana.

Kati omusajja bw’amanya nti oli mwangu era amanya nti ne ku basajja abalala bw’ogenda okubeera, kati olina okukyewala. Noolwekyo mwana wange toleeta buzibu mu famire ate sigala ng’oli mukyala mufumbo.


Source link

You may also like

Popular News

Featured News

Trending News