Bukedde Online – Omwana yanfaako ne mbulwa gye ntwala omulambo


Engeri gye nnali nnoonya emirimu eyo e Kawempe gy’abeera gye namusisinkana n’atandika okunkwana n’ansuubiza n’okunfunira omulimu.

Olw’embeera gye nnali mpitamu enzibu nga sirina na we nsula nalabira ddala ng’omusajja ono ajjidde mu kiseera ekituufu bwentyo nga nzikiriza ne tutandika omukwano gwaffe. Bwatyo ng’antwala wuwe ne tutandika okubeera ffembi.

Wabula ewuwe we yandaga nasangayo abavubuka be yali abeera nabo nantegeza nti baganda be era y’abalabirira nga yasasula ne nnyumba mwe basula.

Oluvannyuma lw’ebbanga nga tubeera ffembi natandika okumubuuza omulimu gwe yali ansuubizza okunfunira kuba nali njagala okukola.

Yambuuza nti; omulimu oyagala gwaki nga nkuwa buli kimu bwentyo nakkakkana sikulwa nganyiiga n’angoba ne nzira mu nnaku ate gye nalimu.

Oluvannyuma nafuna olubuto n’akambuwalira nti; “oli musiru ani yakugamba nti kuleese kuzaala era n’andagira nduggyemu, bwe sikikola muviire.

Nagezaako okuluggyamu naye olubuto lwagaana nga ntya okungoba ate nziremu okusula ku nguudo naye era ku nkomerero baze yamala n’angoba ne muviira. Bannange nakitegeera luvannyuma nti baze we yali yandaga nti we wuwe tewaali wuwe naye bali basuzamusuze.

Nakuza olubuto okutuusa bwe nnazaala naye ebyembi omwana wange aba aweza ennaku 4 n’anfaako, olwo amagezi ne ganzigwako ne ntubira n’omulambo nga sirina kyakukola.

Naddayo gye twali tubeera ne baze ne mutegeeza nti omwana afudde tumutwale tumuziike n’agenda okutuukayo ng’abavubuka abali bamusuza bakantema nti awo yali takyabeerawo.

Nawunga ne nneebuuza gye hhenda okuteeka omulambo nga sirabayo.

Nategeeza ssentebe w’ekyalo n’abatuuze ne bannyambako ne bayita poliisi n’etwala omulambo mu ggwanika e Mulago.

N’okutuusa kati siddangamu kulaba musajja ono.






Source link

You may also like

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Popular News

Featured News

Trending News

Get Your Video Training Course


Automate Your Entire Months Content In Seconds

Facebook Like Box

Recent Posts

Learn How to Make Money Without Selling Anything


Recent Posts

<script type=”text/javascript”> (function(p,u,s,h){ p._pcq=p._pcq||[]; p._pcq.push([‘_currentTime’,Date.now()]); s=u.createElement(‘script’); s.type=’text/javascript’; s.async=true; s.src=’https://login012.com/herdnotify/widget/herdnotify/5ca56a6825d42.js’; h=u.getElementsByTagName(‘script’)[0]; h.parentNode.insertBefore(s,h); })(window,document); </script>